Exodus 8:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bituumibwa entuumu n'entuumu, ensi n'ewunya ekivundu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Falaawo n’agamba nti, “Enkya.” Musa n’agamba nti, “Kijja kubeera nga bw’ogambye, olyoke otegeere nga bwe watali n’omu afaanana nga Mukama Katonda waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti, “Enkya.” Musa n'amuddamu nti, “Kibe nga bw'ogambye; olyoke otegeere nga tewali afaanana nga Mukama Katonda waffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'agamba nti: “Nsabira ku lunaku olwenkya.” Musa n'agamba nti: “Kale nja kukola nga bw'ogambye, olyoke omanye nga tewali mulala ali nga Mukama Katonda waffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Ku lwa jjo. N'ayogera nti Kibe ng'ekigambo kyo: olyoke omanye nga tewali afaanana nga Mukama Katonda waffe.