Exodus 8:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Faraawo yalaba wazzeewo akalembereza, n'addamu okuguguba, era ng'Omukama bwe yali agambye, teyabawuliriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebikere bijja kukuviira, bive ne mu mayumba go, biviire n’abaweereza bo n’abantu bo; bijja kusigala mu mugga mwokka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ebikere binaakuvaako ggwe, n'ennyumba zo, n'abaddu bo, n'abantu bo; ne bisigala mu mugga mwokka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebikere bijja kukuvaako ggwe, bive ne mu nnyumba zo, ne ku bakungu bo, ne ku bantu bo, bisigale mu mugga mwokka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebikere birikuleka ggwe n'ennyumba zo n'abaddu bo n'abantu bo; birisigala mu mugga mwokka.