Exodus 8:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Musa nti: “Gamba Aroni nti: Golola omukono gwo, okube enfuufu ey'oku ttaka, ejja kufuuka ensiri wonna mu nsi y'e Misiri.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa ne Alooni ne bava ewa Falaawo. Musa ne yeegayirira Mukama olw’ebikere Mukama bye yali aleetedde Falaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa ne Alooni ne bava eri Falaawo; Musa n'asaba Mukama aggyewo ebikere bye yaleetera Falaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa ne Arooni ne bava ewa kabaka, Musa n'asaba Mukama aggyewo ebikere, bye yali asindikidde kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa ne Alooni ne bava eri Falaawo: Musa n'akaabira Mukama ku lw'ebikere bye yamuleetera Falaawo.