Exodus 8:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abalaguzi ne bagamba Faraawo nti: “Kino buyinza bwa Katonda.” Naye omutima gwa Faraawo ne gukaluba, era ng'Omukama bwe yali agambye, teyabawuliriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Falaawo bwe yalaba nga waliwo wassiza ku mukka, n’akakanyaza omutima gwe, ebya Musa ne Alooni n’alekera awo okubiwuliriza, era nga Mukama bwe yali agambye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Falaawo bwe yalaba ng'ebikere biweddewo, n'akakanyaza omutima gwe n'atabawulira; nga Mukama bwe yayogera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kabaka bwe yalaba ng'afunye akalembereza, n'akakanyaza omutima gwe, n'atawuliriza Musa ne Arooni, nga Mukama bwe yali agambye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Falaawo bwe yalaba ng'ebbanga weeriri ery'okuwummuliramu, n'akakanyaza omutima gwe n'atabawulira; nga Mukama bwe yayogera.