Exodus 8:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Musa nti: “Golokoka ku makya ku maliiri oyimirire mu maaso ga Faraawo: ajja kubeera ng'alaga ku Kiyira, mugambe nti: ‘Omukama agambye nti: Leka abantu bange bagende bansinze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’ayogera ne Musa nti, “Gamba Alooni bw’oti nti, ‘Golola omuggo gwo, okube ku nfuufu eri ku ttaka, eryoke efuuke ensekere mu nsi yonna ey’e Misiri.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba Alooni nti, ‘Golola omuggo gwo okube enfuufu y'ensi, efuuke ensekere zibune nsi yonna ey'e Misiri.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Gamba Arooni nti: ‘Golola omuggo gwo okube ku ttaka, enfuufu efuuke obutugu mu nsi yonna ey'e Misiri.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Gamba Alooni nti Golola omuggo gwo okube enfuufu y'ensi, ebe ensekere mu nsi yonna ey’e Misiri.