Exodus 8:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba toleka bantu bange kugenda, nzija kukusindikira ensowera ggwe n'abakungu bo, n'abantu bo, ne mu mbiri zo, ennyumba z'Abamisiri zijja kujjula ensowera, ne ku ttaka we bali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bakola nga Mukama bw’abagambye; Alooni n’agolola omukono gwe ogwali gukute omuggo, n’akuba ku nfuufu ku ttaka, ne muvaamu ensekere ne zitambulira ku bantu ne ku nsolo; enfuufu yonna mu nsi y’e Misiri n’efuuka nsekere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bakola bwe batyo; Alooni n'agolola omukono gwe n'omuggo gwe n'akuba enfuufu y'ensi ne waba ensekere ku muntu ne ku nsolo. Enfuufu yonna mu nsi ey'e Misiri n'efuuka ensekere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bakola bwe batyo. Arooni n'agolola omuggo gwe, n'akuba ku ttaka, enfuufu yonna ey'omu nsi ey'e Misiri n'efuuka obutugu, ne bugwa ku bantu ne ku nsolo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bakola bwe batyo; Alooni n'agolola omukono gwe n'omuggo n’akuba enfuufu y’ensi, ne waba ensekere ku muntu ne ku nsolo; enfuufu yonna ey'ensi n'eba ensekere mu nsi yonna ey'e Misiri.