Exodus 8:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ku olwo nzija kutaliza ensi y'e Goseni abantu bange gye babeera, waleme kubaayo nsowera, lw'onootegeera nga nze Mukama ndi wano mu makkati g'ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalogo nabo ne bagezaako mu magezi gaabwe ag’ekyama okufuusa ensekere, naye ne balemwa. Ensekere ne ziteevuunya ku bantu ne ku nsolo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abasawo ne bakola bwe batyo n'amagezi gaabwe ag'ekyama balyoke baleete ensekere, naye ne batayinza. Ne waba ensekere ku muntu ne ku nsolo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasawo nabo ne bakozesa amagezi gaabwe ag'ekyama okuleeta obutugu, naye ne balemwa. Obutugu ne bubuna buli wantu ku bantu ne ku nsolo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abasawo ne bakola bwe batyo n'amagezi gaabwe ag'ekyama balyoke baleete ensekere, naye ne batayinza; ne waba ensekere ku muntu ne ku nsolo.