Exodus 8:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kussaawo enjawulo wakati w'abantu bange n'abantu bo; akabonero kano kanaakolebwa enkya.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalogo ne bagamba Falaawo nti, “Engalo ya Katonda bino y’ebikoze.” Naye omutima gwa Falaawo ne gukakanyala, n’atabawuliriza, nga Mukama bwe yali agambye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasawo ne balyoka bagamba Falaawo nti, “Eno ye ngalo ya Katonda.” Naye Falaawo n'akakanyaza omutima gwe, n'atawulira; nga Mukama bwe yayogera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasawo ne bagamba kabaka nti: “Katonda ye akoze kino.” Naye kabaka n'akakanyaza omutima gwe, era n'atabawuliriza, nga Mukama bwe yali agambye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasawo ne balyoka bagamba Falaawo nti Eno ye ngalo ya Katonda: Falaawo n'akakanyala omutima gwe, n'atabawulira; nga Mukama bwe yayogera.