Exodus 8:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aroni n'agololera omukono ku mazzi g'omu Misiri, ebikere ne bivaayo ne bibikka ku nsi y'e Misiri,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bw’onoogaana n’otabakkiriza kugenda, laba, nnaasindika ebikere ne bijjula ensi yo yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bw'onoogaana ggwe okubaleka, laba, ndibonereza ensi yo, ne ngijjuzaamu ebikere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bw'onoogaana okubaleka okugenda, nja kubonereza ensi yo, nga ngisindikamu ebikere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bw’onoogaana ggwe okubaleka, laba, ndikuba ensalo zo zonna n’ebikere: