Exodus 8:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era Omukama bwe yakola bw'atyo, nnamungi w'ensowera ne yeeyiwa mu lubiri lwa Faraawo ne mu nnyumba z'abakungu be ne mu nsi yonna ey'e Misiri, ensi yonna n'efaafaagana olw'ensowera ezo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Keera mu makya nnyo, ogende osisinkane Falaawo ng’aserengeta ku mazzi omugambe nti, ‘ Mukama agambye bw’ati nti, Leka abantu bange bagende, bansinze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Golokoka enkya mu matulutulu ogende osisinkane Falaawo bw'anaaba ng'afuluma okugenda ku mugga, omugambe nti, Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, ‘Leka abantu bange, bampeereze.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Musa nti: “Enkya golokoka mu matulutulu, ogende osisinkane kabaka, ng'afuluma okulaga ku mugga, omugambe nti: ‘Mukama agamba nti: Leka abantu bange bagende bampeereze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Golokoka ku nkya mu matuluutulu oyimirire mu maaso ga Falaawo; laba, afuluma okugenda ku mazzi; omugambe nti Bw'atyo Mukama bw'ayogera nti Leka abantu bange, bampeereze.