Exodus 8:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Faraawo n'ayita Musa ne Aroni, n'abagamba nti: “Mugende mutambirire Katonda wammwe, naye mu nsi muno.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abantu bange bw’otoobakkirize kugenda, laba, ndireeta ebikuukuulu by’ensowera, ku ggwe ne ku baweereza bo, ne ku bantu bo, ne mu nnyumba zammwe. Ensowera zirijjula mu mayumba ga Bamisiri ne ku ttaka kwe gaazimbibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bw'otoobaleke, ndikuleetera ebikuukuulu by'ensowera ggwe, n'abaddu bo, n'abantu bo, ne mu nnyumba zo; ennyumba n'ebibanja by'Abamisiri birijjula ensowera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bw'otoobaleke kugenda, nja kukuleetera ebibinja by'ensowera, ggwe n'abakungu bo n'abantu bo. Ennyumba zo n'ez'Abamisiri n'ettaka kwe ziri, bijja kujjula ebibinja by'ensowera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bw'otoobaleke, laba, ndikuleetera ebikuukuulu by'ensowera ggwe n'abaddu bo n'abantu bo ne mu nnyumba zo: n'ennyumba ez'Abamisiri zirijjula ebikuukuulu by'ensowera, era n'ebibanja mwe ziri.