Exodus 8:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'agamba nti: “Ekyo si kituufu kukola. Abamisiri benyinyala bye tunaatambirira Omukama Katonda waffe. Bwe tunaatambira ebyo ng'Abamisiri balaba, tebaatukube amayinja?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Naye ku lunaku olwo, ekitundu Goseni abantu bange gye babeera ndikiyisa mu ngeri ya njawulo; kubanga yo teribaayo bikuukuulu bya nsowera n’akatono, olyoke otegeere nga nze, Mukama, ndi wano wakati mu nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange ku lunaku olwo nditaliza ensi ey'e Goseni, abantu bange gye babeera, ebikuukuulu by'ensowera bireme okubeerayo; olyoke otegeere nga nze Mukama ali wakati mu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ku lunaku olwo nja kutaliza ekitundu ky'e Goseni, abantu bange mwe babeera, ebibinja by'ensowera bireme kubeerayo, olyoke omanye nga Nze MUKAMA, mu nsi eno mwendi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange ndigyawulako ku lunaku luli ensi ey'e Goseni, abantu bange mwebasula, ebikuukuulu by'ensowera bireme okubeerayo; olyoke omanye nga nze Mukama ali wakati w'ensi.