Exodus 8:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Faraawo n'agamba nti: “Nzija kubaleka mugende mu ddungu mutambirire Omukama Katonda wammwe, kyokka temugenda wala kuyinga, nange munsabire.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’akola bw’atyo. Ebikuukuulu by’ensowera ne byeyiwa mu lubiri lwa Falaawo, mu nnyumba ye, ne mu mayumba g’abaweereza be, ne mu nsi yonna ey’e Misiri: ensi n’eyonooneka olw’ebikuukuulu by’ensowera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'akola bw'atyo; ebikuukuulu by'ensowera bingi ne bijja mu nnyumba ya Falaawo ne mu nnyumba z'abaddu be; ne mu nsi yonna ey'e Misiri; ensi n'efaafaagana olw'ebikuukuulu by'ensowera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama bw'atyo n'asindika ebibinja by'ensowera ebinene, ne bijja mu nnyumba ya kabaka, ne mu nnyumba z'abakungu be. Ensi yonna ey'e Misiri n'efaafaagana olw'ensowera!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'akola bw'atyo; ebikuukuulu by'ensowera ne bijja ebizibu mu nnyumba ya Falaawo ne mu nnyumba z'abaddu be: ne mu nsi yonna ey'e Misiri ensi n'efa ebikuukuulu by'ensowera.