Exodus 8:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'agamba nti: “Amangu ddala nga naakava wano, nzija kukusabira ew'Omukama. Enkya ensowera zijja kuva ku Faraawo ne ku baweereza be ne ku bantu be bonna. Kyokka Faraawo taddamu n'alimbalimba, n'ataleka bantu kugenda kutambirira Mukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Falaawo n’atumira Musa ne Alooni, n’abagamba nti, “Kale, muweereeyo wano mu nsi eno ssaddaaka eri Katonda wammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Falaawo n'ayita Musa ne Alooni, n'ayogera nti, “Kale mugende muweeyo ssaddaaka eri Katonda wammwe nga muli mu nsi eno.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'ayita Musa ne Arooni n'agamba nti: “Mugende muweeyo ebitambiro eri Katonda wammwe, naye mubiweereyo mu nsi eno.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Falaawo n'ayita Musa ne Alooni, n'ayogera nti Mugende muweeyo saddaaka eri Katonda wammwe mu nsi eno.