Exodus 8:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'afuluma, ne yeegayirira Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Musa n’addamu nti, “Ekyo bwe tukikola, tekijja kuba kituufu. Kubanga ssaddaaka ze tuwaayo eri Mukama Katonda waffe, Abamisiri tebajja kuzaagala. Kale singa tuddira ssaddaaka Abamisiri ze bakyawa ennyo bwe batyo, ne tuziwaayo nga balaba, tebajja kutukuba amayinja?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'ayogera nti, “Si kirungi okukola ekyo; kubanga tujja kuwaayo eri Mukama Katonda waffe eby'omuzizo mu Bamisiri. Bwe tunaawaayo eby'omuzizo ebyo ng'Abamisiri batulaba, tebaatukube amayinja ne batutta?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'addamu nti: “Si kirungi okukola ekyo, kubanga tujja kuwaayo eri Mukama Katonda waffe eby'omuzizo mu Bamisiri. Bwe tunaawaayo eby'omuzizo ebyo ng'Abamisiri batulaba, tebaatukube amayinja ne batutta?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'ayogera nti Si kirungi okukola bwe kityo; kubanga tuliwa eky'omuzizo eky'Abamisiri Mukama Katonda waffe: laba, bwe tulimuwa eky'omuzizo eky'Abamisiri mu maaso gaabwe, tebalitukuba amayinja?