Exodus 8:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda n'akola nga Musa bwe yeegayirira, n'aggya ku Faraawo ensowera ne ku bakungu be ne ku bantu be ne watasigalawo newandibadde ensowera emu eti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kitugwanira tutambule olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe nga bw’anaatulagira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale tuleke tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe, nga bw'alitulagira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ka tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ebitambiro eri Mukama Katonda waffe, nga bw'anaatulagira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ka tugende olugendo olw'ennaku essatu mu ddungu, tuweeyo saddaaka eri Mukama Katonda waffe, nga bw'alitulagira.