Exodus 8:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye era ne ku mulundi guno Faraawo n'aguguba, n'ataleka bantu kugenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Falaawo n’agamba nti, “Nzija kubaleka mugende muweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda wammwe mu ddungu, kyokka temugenda ewala ennyo. Kale munsabire.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Falaawo n'ayogera nti, “Nnaabaleka, mugende muweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda wammwe mu ddungu, wabula kino kyokka; temugenda wala nnyo. Nange munsabire.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'agamba nti: “Nja kubaleka mugende mu ddungu muweeyo ebitambiro eri Mukama Katonda wammwe, bwe muba nga temuugende wala nnyo. Munsabire.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Falaawo n'ayogera nti Naabaleka; muweeyo saddaaka eri Mukama Katonda wammwe mu ddungu: wabula kino kyokka, temugenda wala nnyo: munsabire.