Exodus 8:29 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’addamu nti, “Bwe nnaaba nakava wano w’oli nzija kusaba Mukama, enkya ensowera ziviire Falaawo n’abakungu be awamu n’abantu be. Naye kirungi Falaawo aleme nate kulimbalimba, n’atakkiriza bantu kugenda kuwaayo ssaddaaka eri Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'ayogera nti, “Bwe naava mu maaso go, enkya n'asaba Mukama ebikuukuulu by'ensowera biggibwe ku Falaawo, ne ku baddu be, ne ku abantu be; wabula kino kyokka, Falaawo aleme okwongera okulimba nate okugaana abantu okugenda okuwaayo ssaddaaka eri Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agamba nti: “Olunaava mu maaso go, nga nsaba Mukama nti enkya ebibinja by'ensowera bibaggyibweko: ggwe n'abakungu bo, n'abantu bo. Wabula lema kwongera kutulimba ng'ogaana abantu okugenda okuwaayo ebitambiro eri Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'ayogera nti Laba nva mu maaso go, ndimusaba Mukama ebikuukuulu by'ensowera biggibwewo eri Falaawo, eri abaddu be, n'eri abantu be, jjo: wabula kino kyokka, Falaawo aleme okweyongera nate okulimba obutaleka bantu, baweeyo saddaaka eri Mukama.