Exodus 8:31 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’akola nga Musa bwe yamusaba, n’aggyawo ebikuukuulu by’ensowera ewa Falaawo ne mu baweereza be, ne mu bantu be; ne watasigala nsowera n’emu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'akola nga Musa bwe yasaba; n'aggyirawo Falaawo, abaddu be, n'abantu be ebikuukuulu by'ensowera; ne watasigala n'emu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'akola nga Musa bwe yasaba. N'aggyirawo kabaka n'abakungu be n'abantu be ebibinja by'ensowera, ne watasigala nsowera n'emu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'akola ng'ekigambo kya Musa; n'amuggirawo ebikuukuulu by'ensowera Falaawo, abaddu be, n'abantu be; ne watasigala n'emu.