Exodus 8:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Faraawo n'atumya Musa ne Aroni n'agamba nti: “Mwegayirire Omukama anzigyeko ebikere, nze n'abantu bange; abantu nzija kubaleka bagende batambirire Omukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebikere birikuwalampa ne bikutambulirako ne ku bakungu bo bonna ne ku bantu bo.” ’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebikere birikulinnyako ggwe, ne ku bantu bo, ne ku baddu bo bonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bijja kukuwalampa ggwe, n'abantu bo, era n'abakungu bo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ebikere biririnnya ku ggwe, era ne ku bantu bo, ne ku baddu bo bonna.