Exodus 8:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'agamba Faraawo nti: “Nkirekedde ggwe ombuulire akadde we mba neegayirira ku lulwo ne ku lw'abaweereza bo ne ku lw'abantu bo, ebikere we biba bikuviirako n'abantu bo n'ennyumba yo, bisigale mu Kiyira mwokka?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’agamba Musa nti, “Tegeeza Alooni nti, ‘Golola omukono gwo oyolekeze omuggo gwo eri emigga, n’eri emikutu gy’amazzi, n’eri ebidiba, osobozese ebikere okubuna ensi yonna ey’e Misiri.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Gamba Alooni nti, ‘Golola omukono gwo n'omuggo gwo ku migga, ku myala, ne ku bidiba, olinnyise ebikere ku nsi ey'e Misiri.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Musa nti: “Gamba Arooni nti: Kwata omuggo gwo, ogugolole ku migga ne ku myala, ne ku bidiba, ebikere biveeyo birumbe ensi y'e Misiri.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Gamba Alooni nti Golola omukono gwo n'omuggo gwo ku migga, ku nsalosalo, ne ku bidiba, olinnyise ebikere ku nsi ey'e Misiri.