Exodus 8:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'akola nga Musa bwe yeegayirira, ebikere, mu nnyumba, mu mpya ne mu nnimiro ne bifa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’addamu Falaawo nti, “Weerondere ekiseera nga bw’osiima, w’oyagalira neegayirire Mukama ku lulwo ne ku lw’abaweereza bo, ne ku lw’abantu bo, ebikere ebikuliko n’ebiri mu nnyumba zo bizikirizibwe, bisigale mu mugga Kiyira mwokka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'agamba Falaawo nti, “Ntegeeza ekiseera nze mwe mba nkusabira ggwe, n'abaddu bo, n'abantu bo, ebikere bizikirizibwe bikuveeko, bive ne mu nnyumba zo, bisigale mu mugga mwokka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agamba kabaka nti: “Londa ekiseera mwe mba nkusabira ggwe, n'abakungu bo, n'abantu bo, ebikere biryoke bibaveeko mmwe, era bive ne mu nnyumba zammwe, bisigale mu mugga mwokka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'agamba Falaawo nti Olw'ekyo weenyumiriza ku nze: mu biro ki mwe mba nkusabira ggwe n'abaddu ba n'abantu bo ebikere bizikirizibwe ku ggwe ne ku nnyumba zo, bisigale mu mugga mwokka?