Exodus 9:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Musa nti: “Yingira eri Faraawo omugambe nti: Omukama Katonda w'Abeebureeyi akugambye nti: ‘Leka abantu bange bagende bansinze.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Genda ewa Falaawo omugambe nti, Mukama Katonda wa Abaebbulaniya agambye nti, ‘Leka abantu bange bagende, bansinze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Yingira eri Falaawo omugambe nti, Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda w'Abaebbulaniya nti, ‘Leka abantu bange bampeereze.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Musa nti: “Genda eri kabaka omugambe nti: ‘Mukama Katonda w'Abeebureeyi agamba nti: Leka abantu bange bagende bampeereze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'alyoka agamba Musa nti Yingira eri Falaawo, omugambe nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda w'Abaebbulaniya nti Baleke abantu bange bampeereze.