Exodus 9:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne baddira evvu ery'omu kyoto ne bayimirira mu maaso ga Faraawo, Musa n'alimansa mu bbanga, ebizimba ebyabikamu amabwa ne bikwata abantu n'ebisolo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe batyo ne bayoola omunyale mu kyokero, ne bagenda bayimirira mu maaso ga Falaawo. Musa n’amansa evvu waggulu mu bbanga, ne lifuuka amayute, ne gatulikamu amabwa ku bantu ne ku nsolo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne batwala evvu ery'omu kyoto, ne bayimirira mu maaso ga Falaawo; Musa n'alimansa waggulu; ne lireeta ku bantu ne ku nsolo amayute agayaabika, ne gafuuka amabwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne batwala evvu ery'omu kyoto, ne bayimirira mu maaso ga kabaka. Musa n'alimansa waggulu. Ne lireeta ku bantu ne ku nsolo amayute agaayabika ne gafuuka amabwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batwala evvu ery'omu kyoto, ne bayimirira mu maaso ga Falaawo; Musa n'alimansa waggulu; ne liba ejjute eriyulika mu mabwa ku muntu ne ku nsolo.