Exodus 9:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abalaguzi tebaasobola kugumira Musa olw'ebizimba, anti abalaguzi bonna baalina ebizimba, n'Abamisiri abalala bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalogo ne batasobola kuyimirira mu maaso ga Musa olw’amayute; kubanga amayute gaakwata abalogo n’Abamisiri bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abasawo ne batayinza kuyimirira mu maaso ga Musa kubanga nabo baali bajjudde amayute ng'Abamisiri abalala bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasawo ne batayinza kulabikako mu maaso ga Musa, kubanga baali bajjudde amayute ng'Abamisiri abalala bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abasawo ne batayinza kuyimirira mu maaso ga Musa ku lw'amayute; kubanga, amayute gaali ku basawo, ne ku Bamisiri bonna.