Exodus 9:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Omukama n'agugubya omutima gwa Faraawo, Faraawo n'agaana okubawuliriza ng'Omukama bwe yali agambye Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Mukama n’akakanyaza omutima gwa Falaawo, n’atawuliriza Musa ne Alooni, era nga Mukama bwe yagamba Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'atabawulira; nga Mukama bwe yagamba Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa kabaka, n'atabawuliriza, nga Mukama bwe yali agambye Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'atabawulira; nga Mukama bwe yagamba Musa.