Exodus 9:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Omukama n'agamba Musa nti: “Situka ku makya ku maliiri, wesse mu maaso ga Faraawo. Mugambe nti: Kino Omukama Katonda w'Abeebureeyi ky'agamba: ‘Leka abantu bange bagende bansinze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ozuukuka mu makya nnyo, n’ogenda oyolekera Falaawo, n’omugamba nti, Mukama Katonda wa Abaebbulaniya agamba bw’ati nti, ‘Leka abantu bange bagende, bampeereze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Ogolokoka enkya ku makya, n'oyimirira mu maaso ga Falaawo, n'omugamba nti, Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda w'Abaebbulaniya nti, ‘Leka abantu bange, bagende bampeereze.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Musa nti: “Ogolokoka enkya mu makya, n'ogenda eri kabaka, n'omugamba nti: ‘Mukama Katonda w'Abeebureeyi agamba nti: Leka abantu bange bagende bampeereze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Ogolokoka enkya mu makya, n'oyimirira mu maaso ga Falaawo, n'omugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda w'Abaebbulaniya, nti Leka abantu bange, bampeereze.