Exodus 9:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku mulundi guno nzija kusindika ebibonerezo byange byonna ku ggwe, ne ku bakungu bo ne ku bantu bo, olyoke oyige nti teri annenkana mu nsi yonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ku mulundi guno nzija kukusindikira kawumpuli ku ggwe kennyini, ne ku baweereza bo, ne ku bakungu bo, olyoke otegeere nga tewali ali nga nze mu nsi yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ku mulundi guno nja ku kubonereza nnyo ggwe, n'abaddu bo, n'abantu bo; olyoke omanye nga mu nsi yonna tewali afaanana nga nze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku mulundi guno nja kukubonereza nnyo ggwe, n'abakungu bo n'abantu bo, olyoke omanye nga tewali mulala ali nga nze mu nsi yonna,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omulundi guno naakuleetera ebibonobono byange byonna omutima gwo n'abaddu bo n'abantu bo; olyoke omanye nga tewali mu nsi yonna afaanana nga nze.