Exodus 9:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa nali ngolodde nti omukono gwange ne mbakuba kawumpuli ggwe n'abantu bo, wandibadde wasaanawo dda ku nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga nandiyinzizza okugolola omukono gwange ne nkusindikira olumbe, ggwe n’abantu bo, ne lubamalawo ku nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga kaakano nandikuleseeko kawumpuli ggwe, n'abantu bo ne muzikiririra ddala;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga kaakano nandisobodde okukozesa obuyinza bwange ne nkusindikira ggwe n'abantu bo obulwadde bwa kawumpuli ne bubazikiriza ku nsi;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga kaakano nandigolodde omukono gwange, nandikukubye ggwe n'abantu bo ne kawumpuli, wandizikiridde mu nsi: