Exodus 9:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye eno ye nsonga eyakundesaawo: nkwoleke obuyinza bwange, erinnya lyange liryoke lirangirirwe mu nsi yonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye olw’ensonga eno kyennava nkuleka n’obeera mulamu, ndyoke njolese amaanyi gange, era n’erinnya lyange liryoke litegeezebwe mu nsi yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye kyenvudde nkulekawo ggwe, ndyoke nkulage amaanyi gange, era erinnya lyange liryoke ligulumizibwe mu nsi zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
naye okukulaga obuyinza bwange, nkulese ng'oli mulamu, ndyoke ngulumizibwe mu nsi yonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye ddala mazima kyenvudde nkuyimiriza okukulaga amaanyi gange ggwe, era erinnya lyange okubuulirwa mu nsi zonna.