Exodus 9:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwekyo, enkya mu budde nga buno, nzija kutonnyesa ekire ky'omuzira ekinene ennyo ekitamanyikangako mu nsi y'e Misiri, okuva olunaku lwe yabangibwawo n'okutuusa kati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
noolwekyo, enkya obudde nga bwe buti, nzija kusindika kibuyaga ow’omuzira ogw’amayinja ogutagwangako mu Misiri kasookedde ensi eyo ebaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, enkya nga mu kiseera kino n'atonnyesa omuzira omuzito ennyo, ogutalabikangako mu Misiri kasookedde ebaawo okutuusa kaakano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale, enkya mu kiseera nga kino, nja kutonnyesa omuzira omuzito ennyo, ogutalabikangako mu Misiri kasookedde ebeerawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, jjo nga mu kiseera kino nditonnyesa omuzira omuzito ennyo, ogutalabikanga mu Misiri kasookedde esooka okubaawo okutuusa kaakano.