Exodus 9:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno amagana go na buli kintu kyo kyonna ky'olina mu nnimiro bikuŋŋaanye obiyingize kubanga abantu n'ebisolo ebinaasangibwa ku ttale nga tebiggyiddwayo, omuzira gujja kubikuba bife.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale, lagira bayingize amagana go ag’ente, n’ebisolo byonna ebiri mu ddundiro, kubanga omuzira gujja kukuba buli muntu ali ebweru era ajja kufa; ne buli nsolo yonna eneebeera ebweru mu ddundiro gujja kugikuba efe.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kaakano lagira abaddu bo baggye mangu amagana go ku ttale; kubanga buli muntu, n'ensolo ebinaasigala ku ttale, ne bitayingizibwa mu nnyumba, omuzira gujja kubikuba gubitte.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano lagira bayingize amagana n'ebintu byo byonna ebiri ebweru, omuzira gujja kukuba era gutte buli kiramu ekinaasangibwa ebweru nga tekiyingiziddwa mu nnyumba, k'abe muntu oba nsolo.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, kaakano, tuma, oyanguye okuyingiza amagana go ne byonna by'olina mu ttale; buli muntu n'ensolo abanaalabika mu ttale abataaleetebwe mu nnyumba, omuzira gulibakuba, balifa.