Exodus 9:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakungu ba Faraawo abaatya Omukama bye yagamba, baddusiza abaddu baabwe mu nnyumba n'ebisolo ne babiyingiza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakungu ba Falaawo abaali batya ekigambo kya Mukama, ne banguwa ne bayingiza abaddu baabwe n’amagana gaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mu baddu ba Falaawo, buli eyatya ekigambo kya Mukama yaddusiza abaddu be n'amagana ge mu nnyumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu bakungu ba kabaka, buli eyatya ebyo Mukama bye yayogera, n'addusiza abaddu be n'amagana ge mu nnyumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eyatya ekigambo kya Mukama mu baddu ba Falaawo n'abaddusiza abaddu be n'amagana ge mu nnyumba: