Exodus 9:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abatassa mutima ku kulabula kwa Mukama, abaddu baabwe n'amagana gaabwe baabireka ku ttale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abo abatassaayo mwoyo ku kigambo kya Mukama ne baleka abaddu baabwe n’amagana gaabwe ebweru.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ataakitya yaleka abaddu be n'amagana ge ku ttale.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abataatya ebyo Mukama bye yayogera, ne baleka abaddu baabwe n'amagana gaabwe ebweru.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ataakitya ekigambo kya Mukama n'abaleka abaddu be n'amagana ge mu ttale.