Exodus 9:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Musa nti: “Golola waggulu omukono gwo, omuzira gulyoke gugwe mu nsi yonna ey'e Misiri ku bantu ne ku nsolo ne ku buli kimera kyonna mu nsi y'e Misiri.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo eri eggulu, omuzira gugwe ku nsi yonna ey’e Misiri: gukube abantu, n’ensolo, ne buli kimera kyonna ekiri mu nnimiro mu Misiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa nti, “Golola omukono gwo eri eggulu, omuzira gugwe ku nsi yonna ey'e Misiri, ku muntu, ne ku nsolo, ku nsuku ne ku bimera byonna eby'omu nnimiro.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'agamba Musa nti: “Golola omukono gwo eri eggulu, omuzira gugwe mu nsi yonna ey'e Misiri, ku bantu ne ku nsolo, ne ku bimera byonna ebiri mu nnimiro.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa nti Golola omukono gwo eri eggulu, omuzira gubeere mu nsi yonna ey'e Misiri, ku muntu, ne ku nsolo, ne ku muddo gwonna ogw'omu nsuku, mu nsi yonna ey'e Misiri.