Exodus 9:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuzira omuli n'omuliro ne bijjira kumu, omuzira ne gugwa ogw'amaanyi ennyo ekitabangawo bukya Misiri etandika kufuuka ggwanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuzira ne gugwa, n’okumyansa ne kwetabika n’omuzira awatali kusalako, ne guba mungi nnyo, nga tegugwangako bwe gutyo kasookedde ensi ya Misiri efuuka ggwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne waba omuzira, n'omuliro ne gwaka wakati w'omuzira omuzito ennyo, ogutabangawo mu nsi yonna ey'e Misiri kasookedde ebeera eggwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne waba omuliro ogwakira mu muzira omuzito ennyo, ogutabangawo mu nsi yonna ey'e Misiri kasookedde ebaawo ng'eggwanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne waba omuzira, n'omuliro ne gwaka wakati w'omuzira, omuzito ennyo, ogutabangawo mu nsi yonna ey'e Misiri kasookedde ebeera eggwanga.