Exodus 9:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuzira ne gukuba wonna mu nsi y'e Misiri ebirime byonna mu nnimiro, ne gutataliza muntu na nsolo na buli kimera kyonna ku ttale, ne gumenyaamenya buli muti oguli mu nnimiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuzira gwakuba buli kintu kyonna ekyali ebweru mu nnimiro mu nsi yonna ey’e Misiri: abantu n’ensolo; era omuzira ne gukuba buli kimera kyonna mu nnimiro, ne gusensebula emiti gyonna ku ttale.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuzira ne gugwa ku nsi yonna ey'e Misiri ne gukuba buli ekyali ku ttale: omuntu, ensolo; omuddo, ne gumenya n'emiti.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu nsi yonna ey'e Misiri omuzira ne gukuba buli kintu ekyali wabweru, nga mw'otwalidde abantu n'ensolo. Ne gukuba ebimera byonna mu nnimiro, era ne gumenya emiti gyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuzira ne gukuba mu nsi yonna ey'e Misiri buli ekyali mu ttale, omuntu era n'ensolo; omuzira ne gukuba buli muddo ogw'omu nsuku, ne gumenya buli muti ogw'omu nsuku.