Exodus 9:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Faraawo n'atumya Musa ne Aroni, n'agamba nti: “Ku mulundi guno nnyonoonye. Omukama ye mutuufu, nze n'abantu bange ffe basobya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Falaawo n’atumya Musa ne Alooni, n’abagamba nti, “Leero luno nnyonoonye; Mukama ye mutuufu, naye nze n’abantu bange ffe bakyamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Falaawo n'atumya, Musa ne Alooni, n'abagamba nti, “Nnyonoonye omulundi guno; Mukama ye mutuukirivu, nze n'abantu bange tuli babi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'atumya Musa ne Arooni, n'abagamba nti: “Ku mulundi guno nsobezza, Mukama ye mutuufu. Nze n'abantu bange ffe basobya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Falaawo n'atuma, n'ayita Musa ne Alooni, n'abagamba nti Nnyonoonye omulundi guno: Mukama ye mutuukirivu, nange n'abantu bange tuli babi.