Exodus 9:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwegayirire Omukama okubwatuka okw'amaanyi n'omuzira bimala, nzija kubaleka mugende, temujja kusigala wano.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weegayirire Mukama; kubanga omuzira n’okubwatuka bitwetamizza. Nzija kubaleka mugende; siraba kyemuva mweyongera kubeera wano.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale musabe Mukama akomye okubwatuka okw'amaanyi n'omuzira; kubanga ebyo bimmaze; nange nnaabaleka mugende mangu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musabe Mukama, akomye okubwatuka okw'amaanyi n'omuzira. Nja kubaleka mugende muleme kwongera kusigala wano.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musabe Mukama; kubanga okubwatuka okw'amaanyi n'omuzira bimmaze; nange ndibaleka, muleme okulwawo nate.