Exodus 9:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'amuddamu nti: “Bwe nnaava mu kibuga, nzija kugololera emikono gyange eri Omukama. Okubwatuka kujja kukoma, n'omuzira tegujja kweyongera kubaayo, olwo onoomanya nti ensi ya Mukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’addamu nti, “Olunaafuluma mu kibuga, nnaagolola emikono gyange waggulu eri Mukama ne mmusaba. Okubwatuka kunaasirika, n’omuzira gunaalekera awo okugwa; olyoke otegeere ng’ensi eno Mukama ye nannyini yo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'addamu nti, “Bwe nnaava mu kibuga, naayanjululiza Mukama ebibatu byange, okubwatuka ne kuggwaawo n'omuzira ne gulekeraawo; olyoke omanye ng'ensi ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agamba nti: “Olunaava mu kibuga nga ngolola emikono gyange eri Mukama. Okubwatuka kunaakoma, n'omuzira gujja kuggwaawo, olyoke omanye ng'ensi ya Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'amugamba nti Bwe ndimala okuva mu kibuga, ne ndyoka mwanjululiza Mukama ebibatu byange; okubwatuka kuliggwaawo, so tewalibeera muzira nate; olyoke omanye ng'ensi ya Mukama.