Exodus 9:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
omukono gw'Omukama gujja kukuba amagana go mu malundiro go, gugalwaze nsotoka ow'akabi ennyo: embalaasi, endogoyi, eŋŋamiya, ente n'endiga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama ajja kusindika nsotoka omukambwe ennyo mu magana go agali mu malundiro, ne mu mbalaasi ne mu ndogoyi, ne mu ŋŋamira, ne mu zisseddume z’ente ne mu ndiga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
laba, omukono gwa Mukama gulireeta nsotoka omuzibu ennyo ku magana go agali ku ttale: ku mbalaasi, ku ndogoyi, ku ŋŋamira, ku nte, ne ku ndiga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze MUKAMA nja kukubonereza nga nsindika obulwadde obw'akabi ennyo mu magana go, agali mu malundiro: embalaasi n'endogoyi, eŋŋamiya n'ente, endiga era n'embuzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
laba, omukono gwa Mukama guli ku magana go agali mu ttale, ku mbalaasi, ku ndogoyi, ku ŋŋamira, ku nte, ne ku ndiga: nsotoka omuzibu ennyo.