Exodus 9:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'ava ewa Faraawo n'afuluma ekibuga, n'agololera emikono gye eri Omukama, olwo okubwatuka n'omuzira ne bikoma n'enkuba n'erekera awo okuyiika ku nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’ava mu kibuga ewa Falaawo, n’awanika emikono gye eri Mukama ng’amusaba; okubwatuka n’omuzira ne bisirika, era n’enkuba n’ekya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa bwe yava mu kibuga awali Falaawo, n'ayanjululiza Mukama ebibatu bye; okubwatuka n'omuzira ne biggwaawo, n'enkuba n'eteyongera kutonnya ku nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'ava awali kabaka n'afuluma ekibuga, n'agolola emikono gye eri Mukama, okubwatuka n'omuzira ne bikoma, n'enkuba n'erekera awo okutonnya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'ava mu kibuga eri Falaawo, n'ayanjululiza Mukama ebibatu bye: okubwatuka n'omuzira ne biggwaawo, so enkuba n'etetonnya ku nsi.