Exodus 9:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Faraawo bwe yalaba ng'enkuba, omuzira n'okubwatuka bikomye, n'addamu okwonoona, omutima gwe ne guguguba ko n'egy'abakungu be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Falaawo bwe yalaba enkuba, n’omuzira, n’okubwatuka nga birekeddaawo, ate ne yeeyongera okusobya; ye n’abakungu be ne bakakanyaza emitima gyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Falaawo bwe yalaba ng'enkuba, n'omuzira, n'okubwatuka biweddewo, ne yeeyongera okwonoona, n'akakanyaza omutima gwe, ye n'abaddu be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kabaka bwe yalaba ng'enkuba n'omuzira era n'okubwatuka bikomye, n'ayongera okwonoona. Ye n'abakungu be ne bakakanyaza emitima gyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Falaawo bwe yalaba ng'enkuba n'omuzira n'okubwatuka nga biweddewo, ne yeeyongera okwonoona, n'akakanyaza omutima gwe, ye n'abaddu be.