Exodus 9:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Faraawo n'aguguba, n'ataleka Bayisirayeli kugenda ng'Omukama bwe yali agambye ng'ayita mu Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omutima gwa Falaawo bwe gutyo ne gukakanyala; n’ataleka baana ba Isirayiri kugenda, era nga Mukama bwe yayogerera mu Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Falaawo n'akakanyaza omutima gwe n'ataleka baana ba Isiraeri kugenda, nga Mukama bwe yayogerera mu Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nga Mukama bwe yayogerera mu Musa, kabaka n'akakanyaza omutima gwe, n'ataleka Bayisirayeli kugenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Falaawo omutima gwe ne gukakanyala, n'atabaleka abaana ba Isiraeri; nga bwe yayogerera Mukama mu Musa.