Exodus 9:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama ajja kwawulamu amagana g'Abayisirayeli n'ag'Abamisiri. Mu by'Abayisirayeli temujja kubaamu na kimu kifa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Mukama ajja kwawulamu amagana aga Isirayiri n’aga Misiri, waleme kubaawo nsolo n’emu efa mu magana ag’abaana ba Isirayiri.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Mukama alyawula amagana g'Abaisiraeri ku g'Abamisiri; so ku g'Abaisiraeri tekulifa n'emu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nja kwawulamu ensolo z'Abayisirayeli n'ezo ez'Abamisiri, waleme kufa n'emu ku z'Abayisirayeli.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama alyawula amagana g'Abaisiraeri n'amagana ag'e Misiri; so tewalifa n'emu mu ago ag'abaana ba Isiraeri gonna.