Exodus 9:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enkeera, Omukama n'atuukiriza ekigambo ekyo: amagana g'Abamisiri gonna ne gafa, naye mu bisolo by'Abayisirayeli temwali na kimu kyafa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era enkeera Mukama n’akola ekikolwa ekyo: amagana aga Misiri gonna ne gafa, naye ne wataba nsolo n’emu ku magana ag’abaana ba Isirayiri eyafa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'akola ekyo bwe bwakya enkya, amagana gonna ag'e Misiri ne gafa; naye mu magana g'abaana ba Isiraeri tekwafa n'emu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe bwakya enkya, Mukama n'akola ekyo kye yagamba: ensolo zonna ez'Abamisiri ne zifa. Naye ku z'Abayisirayeli ne kutafa n'emu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'akola kiri bwe bwakya enkya, amagana gonna ag'e Misiri ne gafa: naye mu magana g'abaana ba Isiraeri tewaafa n'emu.