Exodus 9:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Faraawo yatuma abantu balabe: ddala temwali kisolo na kimu kyafa mu magana g'Abayisirayeli. Kyokka Faraawo n'aguguba, n'ataleka bantu kugenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Falaawo n’atuma abantu okwetegereza, ne basanga nga tewali wadde ensolo n’emu ey’abaana ba Isirayiri eyali efudde. Naye era omutima gwa Falaawo ne gusigala nga gukyakakanyadde, Abayisirayiri n’atabakkiriza kugenda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Falaawo n'atuma okubuuza ekibaddewo ku magana g'Abaisiraeri, ne bamutegeeza nti tekuli n'emu efudde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'atuma okubuuza ekibaddewo, ne bamutegeeza nti mu magana g'Abayisirayeli tewali wadde nsolo emu efudde. Naye kabaka n'akakanyaza omutima gwe, n'ataleka bantu kugenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Falaawo n'atuma, laba, mu magana g'Abaisiraeri tewaali newakubadde n'emu efudde. Naye Falaawo omutima ne gukakanyala, n'atabaleka abantu.