Exodus 9:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'agamba Musa ne Aroni nti: “Muddire evvu ly'omu kyoto, mbatu nnamba, Musa alimanse mu bbanga mu maaso ga Faraawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti, “Muyoole mu kyokero embatu z’omunyale, Musa agumanse waggulu mu bbanga nga ne Falaawo alaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti, “ Mutwale embatu z'evvu ery'omu kyoto, Musa alimanse waggulu nga Falaawo alaba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'agamba Musa ne Arooni nti: “Mutwale embatu z'evvu ery'omu kyoto, Musa alimansize waggulu nga kabaka alaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti Mwetwalire embatu ez'evvu ery'omu kyoto, Musa alimansize waggulu mu maaso ga Falaawo.