Ezekiel 1:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaaso gaabyo nga gafaanana bwe gati: buli kimu kyalina ekyenyi ng'eky'omuntu, n'ekyenyi ng'eky'empologoma ku luuyi olwa ddyo, n'ekyenyi ng'eky'ente ennume ku luuyi olwa kkono; ebina era byalina ekyenyi ng'eky'empungu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obwenyi bwabyo bwafaanana bwe buti: Buli kimu kyalina ekyenyi eky’omuntu, oluuyi olwa ddyo olwa buli kyenyi nga lufaanana ekyenyi eky’empologoma, n’oluuyi olwa kkono ku buli kyenyi nga lufaanana ekyenyi eky’ente, ate nga birina n’ekyenyi ky’emunyungu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Byalina ekifaanana obwenyi: Buli kimu kyalina obwenyi ng'obw'omuntu mu maaso, obwenyi ng'obw'empologoma ku ludda olwa ddyo obwenyi ng'obw'ente ku ludda olwa kkono n'obwenyi ng'obw'empungu emabega.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Byalina ekifaanana ng'obwenyi. Buli kimu kyalina obwenyi ng'obw'omuntu mu maaso, n'obwenyi ng'obw'empologoma ku ludda olwa ddyo, n'obwenyi ng'obw'ente ku ludda olwa kkono, ate n'obwenyi ng'obw'empungu emabega.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekifaananyi ky'obwenyi bwabyo, byalina obwenyi bw'omuntu; era ebyo ebina byalina obwenyi bw'empologoma ku lubiriizi olwa ddyo; era ebyo ebina byalina obwenyi bw'ente ku lubiriizi olwa kkono; ebyo byonna byalina n'obwenyi bw'empungu.