Ezekiel 1:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaaso gaabyo bwe gatyo bwe gaali. Ebiwaawaatiro byabyo nga byegololedde waggulu; buli kiramu kyalina ebiwaawaatiro bibiri, ng'ekimu kikoma ku kiwaawaatiro ky'ekirala ku njuyi zombi, ate ebibiri nga bibikka omubiri gwakyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyenyi byabyo n’ebiwaawaatiro byabyo byali byanjuluze nga bitunudde waggulu. Buli kimu kyalina ebiwaawaatiro bibiri, buli kiwaawaatiro nga kikona ku kinnaakyo, ebibiri ebirala nga bibisse ku mibiri gyabyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Byali bifaanana bwe bityo mu bwenyi bwabyo. Ebiwaawaatiro byabyo bwe byeyanjuluzanga waggulu, ebiwaawaatiro bibiri ebya buli kimu ne byekoona ku bya kinnaakyo ekikiriraanye, n'ebirala ebibiri ne bibikka omubiri gwabyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe bityo bwe byali bifaanana mu bwenyi bwabyo. Ebiwaawaatiro byabyo bwe byeyanjuluzanga waggulu, ebibiri ebya buli kimu ne byekoona ku bya kinnaakyo ekikiriraanye, n'ebirala ebibiri ne bibikka omubiri gwakyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'obwenyi bwabyo n'ebiwaawaatiro byabyo byali nga byawuse waggulu; ebiwaawaatiro bibiri ebya buli kimu byagattibwa wamu, n'ebibiri byasaanikira emibiri gyabyo.